2 Chronicles 20:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka ebifo ebigulumivu tebyaggyibwawo, anti abantu baali tebannassa mutima ku Katonda wa bajjajjaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ebifo ebigulumivu teyabiggyaawo, so n’abantu ne bataweerayo ddala mitima gyabwe eri Katonda wa bajjajjaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ebifo ebigulumivu teyabiggyawo, era n'abantu baali tebewereddeyo ddala mu mitima gyabwe okusinzanga Katonda wa bajjajjaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula ebifo ebigulumivu bye basinzizaamu, tebyaggyibwawo. Era n'abantu baali tebannamalira mitima gyabwe ku kusinza Katonda wa bajjajjaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo; so n'abantu nga tebannaba kukakasa mitima gyabwe eri Katonda wa bajjajjaabwe.