2 Chronicles 20:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebirala mu bifaayo bya Yosafati, okuva ku ntandikwa okutuuka gye bikoma, byawandiikibwa mu kitabo ky'ebyafaayo bya Yewu Mutabani wa Kanani, ebyassibwa mu Kitabo kya Bakabaka ba Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyafaayo ebirala ebyaliwo mu mulembe gwa Yekosafaati, okuva ku ntandikwa ye okutuusa ku nkomerero ye, byawandiikibwa mu bitabo bya Yeeku mutabani wa Kanani, era biri ne mu kitabo ekya bassekabaka ba Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekosafaati, okuva ku ntandikwa ye, okutuusa ku nkomerero, byawandiikibwa mu kitabo kya Yeeku, mutabani wa Kanani, n'ebiyingizibwa ne mu Kitabo kya Bassekabaka ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ebirala Yehosafaati bye yakola, okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, byawandiikibwa mu kitabo kya Yehu, mutabani wa Hanani, ne biyingizibwa mu kitabo ky'Ebyafaayo bya Bassekabaka ba Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekosafaati, ebyasooka n'ebyamalirwako, laba, byawandiikibwa mu bigambo bya Yeeku mutabani wa Kanani, ebyayingizibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isiraeri.