2 Chronicles 20:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyumako Yosafati kabaka wa Yuda yakola ekinywi ne Akaziya kabaka wa Yisirayeli eyakolanga obubi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe waayitawo ebbanga, Yekosafaati kabaka wa Yuda n’akola endagaano ne Akaziya kabaka wa Isirayiri, omukozi w’ebibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma Yekosafaati yeegatta ne Akaziya kabaka wa Isiraeri eyakola ebibi ebingi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oluvannyuma Yehosafaati kabaka wa Buyudaaya yeegatta ne Ahaaziya kabaka wa Yisirayeli eyakola ebibi ebingi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo oluvannyuma lw'ebyo Yekosafaati ne yeegatta ne Akaziya kabaka wa Isiraeri; oyo n'akola bubi nnyo: