2 Chronicles 20:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yeetaba naye okukola amaato ag'okugendanga e Tarusisi; gaazimbirwa Aziyoni-Geberi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ateesa naye okuzimba ebyombo ebyamaguzi biseeyeeyenga okugenda e Talusiisi, era ne babizimbira mu Eziyonigeba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yeegatta naye okukola ebyombo eby'okugenda e Talusiisi, ne babikolera e Ezyonigeba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yeegatta naye okukola amaato ag'okugenda e Tarusiisi, nga bagakolera mu Eziyonigeberi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne yeegatta naye okusiba ebyombo eby'okugenda e Talusiisi: ne basibira ebyombo e Ezyonigeba.