2 Chronicles 20:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eriyezeli mutabani wa Dodavawu ow'e Maresa n'alanga bubi ku Yosafati ng'agamba nti: “Kubanga okoze ekinywi ne Akaziya, Omukama alyonoona by'okoze.” Amaato ne gasesegguka, tegaasobola kugenda Tarusisi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo Eryeza mutabani wa Dodavaku ow’e Malesa n’ayogera ebyobunnabbi eri Yekosafaati ng’agamba nti, “Kubanga okoze endagaano ne Akaziya, n’omwegattako, Mukama alizikiriza by’okoze.” Era ebyombo ne bimenyekamenyeka, ne bitasobola kugenda Talusiisi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Eryeza, mutabani wa Dodavaku ow'e Malesa, n'alabula Yekosafaati ng'agamba nti, “Kubanga weegasse ne Akaziya, Mukama ajja kuzikiriza by'okoze.” Ebyombo ne bimenyekera mu nnyanja ne bitayinza kugenda e Talusiisi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Eleyezeeri, mutabani wa Dadavahu ow'e Maresa, n'alabula Yehosafaati nti: “Nga bwe weegasse ne Ahaaziya, Mukama ajja kuzikiriza by'okoze.” Amaato ne gamenyekera mu nnyanja, ne gatayinza kugenda Tarusiisi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Eryeza mutabani wa Dodavaku ow'e Malesa n'alagula ku Yekosafaati ng'ayogera nti Kubanga weegasse ne Akaziya, Mukama azikirizza emirimu gyo. Ebyombo ne bimenyeka n'okuyinza ne bitayinza kugenda e Talusiisi.