2 Chronicles 20:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yosafati yayimirira mu makkati g'ekibiina kya Yuda ne Yeruzaalemu ku nnyumba y'Omukama mu maaso g'oluggya olwali lwakamalirizibwa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yekosafaati n’ayimirira mu maaso g’ekkuŋŋaaniro lya Yuda ne Yerusaalemi, mu yeekaalu ya Mukama mu maaso g’oluggya olupya,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yekosafaati n'ayimirira mu maaso g'ekkungaaniro lya Yuda ne Yerusaalemi, mu nnyumba ya Mukama mu maaso g'oluggya,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yehosafaati n'ayimirira mu b'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu abakuŋŋaanidde ku Ssinzizo mu maaso g'oluggya olupya,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yekosafaati n'ayimirira mu kkuŋŋaaniro lya Yuda ne Yerusaalemi mu nnyumba ya Mukama mu maaso g'oluggya oluggya;