2 Chronicles 20:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'agamba nti: “Ayi Mukama Katonda wa bajjajjaffe, si ggwe Katonda ali mu ggulu? Obwakabaka bwonna mu mawanga ggwe obufuga; amaanyi n'obuyinza biri mu mikono gyo, era tewali n'omu asobola kukuziyiza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ayogera nti, “Ayi Mukama, Katonda wa bajjajjaffe, si ggwe Katonda ow’omu ggulu? Si ggwe ofuga obwakabaka bwonna mu nsi? Obuyinza n’amaanyi biri mu mukono gwo, n’okubaawo ne watabaawo n’omu ayinza okuyimirira mu maaso go.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'agamba nti, “Ayi Mukama, Katonda wa bajjajjaffe, si ggwe Katonda ow'omu ggulu? Si ggwe afuga obwakabaka bwonna mu nsi? Olina obuyinza n'amaanyi, tewali ayinza okukuziyiza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'agamba nti: “Ayi Mukama Katonda wa bajjajjaffe, osinziira mu ggulu n'ofuga obwakabaka bw'amawanga gonna. Olina obuyinza n'amaanyi, nga tewali ayinza kukuziyiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ayogera nti Ai Mukama Katonda wa bajjajjaffe, toli Katonda mu ggulu? era si ggwe ofuga obwakabaka bwonna obw'amawanga? ne mu mukono gwo mwe muli obuyinza n'amaanyi n'okubaawo ne watabaawo ayinza okukuziyiza.