2 Chronicles 20:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Katonda waffe, tewagoba abaali mu nsi eno mu maaso g'abantu bo Yisirayeli, ensi n'ogiwa ezzadde lya Yiburayimu mukwano gwo emirembe gyonna?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Katonda waffe, si ggwe wagobamu abatuuze abaali mu nsi eno mu maaso g’abantu bo Isirayiri, n’ogiwa ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwo okugibeerangamu emirembe gyonna?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Katonda waffe, si ggwe wagoba abaali mu nsi eno mu maaso g'abantu bo Isiraeri, n'ogiwa ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwo emirembe gyonna?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Katonda waffe, abantu bo Abayisirayeli bwe bajja mu nsi eno, wagigobamu abaagirimu, n'ogiwa bazzukulu ba Aburahamu mukwano gwo, ebe yaabwe ennaku zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Katonda waffe, si ggwe wagoba abaali mu nsi eno mu maaso g'abantu bo Isiraeri, n'ogiwa ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwo emirembe gyonna?