2 Chronicles 20:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Obubenje bwe butugwiranga, oba ekitala olw'omusango okutusinga, oba kawumpuli, oba enjala, tugenda kuyimiriranga mu maaso go, mu maaso g'ennyumba eno okuli erinnya lyo, tukoowoole gy'oli mu buyinike bwaffe; tugenda kukulaajanira, olituwulira n'otulokola.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
‘Bwe tulituukibwako akabi konna, oba ekitala eky’okusala omusango, oba lumbe, oba njala, tunaayimiriranga mu maaso go, ne mu maaso ga yeekaalu eno okuli erinnya lyo, ne tukukaabiriranga mu kulumwa kwaffe n’otuwulira era n’otulokola.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
‘Obubi bwe bunaatutuukangako, n'olutalo oba musango, oba lumbe, oba njala, tunaayimiriranga mu maaso g'ennyumba eno ne mu maaso go, ne tukukaabira nga tulabye ennaku, naawe oliwulira n'olokola.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
‘Bwe tunaatuukibwangako akabi, ng'olutalo, oba okusalirwa omusango, oba kawumpuli, oba enjala, tunaayimiriranga mu maaso g'Essinzizo lino, mu maaso go, kubanga mu lyo mwe tukusinziza, ne tukusindira obuyinike bwaffe, n'owulira, n'otuwonya.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obubi bwe bunaatutuukangako, ekitala, omusango, oba lumbe oba njala, tunaayimiriranga mu maaso g'ennyumba eno ne mu maaso go, (kubanga erinnya lyo liri mu nnyumba eno,) ne tukukaabira nga tulabye ennaku, naawe oliwulira n'olokola.