2 Chronicles 21:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yosafati n'agalamira ne bajjajjaabe, n'aziikibwa nabo mu Kibuga kya Dawudi; Yoramu mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yekosafaati ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi; Yekolaamu mutabani we n’amusikira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yekosafaati naafa, n'aziikibwa awali bajjajjaabe, mu kibuga kya Dawudi. Yekolaamu, mutabani we n'amusikira okuba kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yehosafaati, n'akisa mukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa we baabaziika, mu kibuga kya Dawudi. Mutabani we Yehoraamu n'amusikira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yekosafaati ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi: Yekolaamu mutabani we n'afuga mu kifo kye.