2 Chronicles 21:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuva ku olwo Edomu n'ajeemera Yuda n'okutuusa ku lunaku lwa leero. Mu budde obwo ne Libuna n'ajeema, kubanga Yoramu yali avudde ku Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuva ku olwo Edomu ne bajeemera Yuda n’okutuusa leero. Mu kiseera ekyo Libuna naye ne n’amujeemera, kubanga Yekolaamu yali avudde ku Mukama Katonda wa bajjajjaabe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe batyo Abaedomu ne bajeemera Yuda ne leero. Era mu biseera ebyo, Libuna n'ajeemera Yekolaamu, kubanga yali avudde ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe batyo Abeedomu ne bajeemera Buyudaaya n'okutuusa kati. Era mu biseera ebyo, n'ab'e Libuna nabo ne bajeemera Yehoraamu, kubanga yava ku Mukama Katonda wa bajjajjaabe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Edomu n'ajeema okuva wansi w'omukono gwa Yuda ne leero. Awo Libuna n'ajeema mu biro ebyo wansi w'omukono gwe kubanga yali avudde ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabe.