2 Chronicles 21:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yali azimbye ebifo ebigulumivu mu nsozi za Yuda, n'atwaliriza atyo abantu b'omu Yeruzaalemu okukola obwamalaaya ne balubaale, n'aggya Yuda ku nsinza entuufu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yali azimbye n’ebifo ebigulumivu ku nsozi za Yuda, era ng’aleetedde n’abatuuze ba Yerusaalemi obutaba beesigwa, nga ne Yuda bawabye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'akola ebifo ebigulumivu ku nsozi za Yuda, n'aleetera abantu b'omu Yerusaalemi, n'emu Yuda okusobya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'akola n'ebifo ebigulumivu bye basinzizaamu ku nsozi z'omu Buyudaaya, n'aleetera abantu b'omu Yerusaalemu okuva ku Mukama, n'akyamya ab'omu Buyudaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate n'akola ebifo ebigulumivu ku nsozi za Yuda, n'ayenza abaabeeranga mu Yerusaalemi, n'akyamya Yuda.