2 Chronicles 21:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olumu ebbaluwa okuva ewa Eliya omulanzi yamutuukako ng'egamba nti: “Kino Omukama Katonda wa Dawudi kitaawo ky'agamba: ‘Totambulidde mu makubo ga kitaawo Yosafati ne mu makubo ga Asa kabaka wa Yuda,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yekolaamu n’afuna ebbaluwa okuva eri Eriya nnabbi ng’egamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa jjajjaawo Dawudi nti, ‘Olw’obutatambulira mu makubo ga kitaawo Yekosafaati, wadde mu makubo ga Asa kabaka wa Yuda,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yekolaamu n'afuna ebbaluwa eyava ewa Eriya nnabbi, ng'egamba nti, “Bw'atyo bw'ayogera, Mukama Katonda wa Dawudi jjajjaawo, nti Kubanga totambulidde mu makubo ga Yekosafaati kitaawo, ne mu ga Asa jjajjaawo, bassekabaka ba Yuda,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yehoraamu n'afuna ebbaluwa eyava ewa Eliya omulanzi, ng'egamba nti: “Mukama Katonda wa jjajjaawo Dawudi agamba nti wagaana okugoberera empisa ennungi eza kitaawo Yehosafaati, n'eza jjajjaawo Asa ssekabaka wa Buyudaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne wamujjira ekiwandiike ekyava eri Eriya nnabbi ekyogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Dawudi kitaawo nti Kubanga totambulidde mu makubo ga Yekosafaati kitaawo newakubadde mu makubo ga Asa kabaka wa Yuda;