2 Chronicles 21:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
wabula okutte amakubo ga bakabaka ba Yisirayeli, n'oleetera Yuda n'abantu b'omu Yeruzaalemu okukola obwamalaaya ne balubaale ng'ennyumba ya Akabu bwe yakola obwamalaaya. Watemula ne baganda bo, ennyumba ya kitaawo yennyini, abasajja abaali bakusinga n'obulungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye n’otambulira mu kkubo lya bakabaka ba Isirayiri, n’oleetera Yuda n’abantu b’e Yerusaalemi obutaba beesigwa, ng’ennyumba ya Akabu bwe yakola, era n’otta ne baganda bo ab’ennyumba ya kitaawo, abaali bakusinga empisa,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye n'otambulira mu kkubo lya bassekabaka ba Isiraeri, n'oleteera abantu b'omu Yuda n'emu Yerusaalemi, okuva ku Mukama ng'ennyumba ya Akabu bwe yakola, okwo n'ossaako okutta baganda bo, ab'omu nnyumba ya kitaawo, abaakusinga obulungi:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka n'ogoberera empisa za bassekabaka ba Yisirayeli, abantu b'omu Buyudaaya n'abatuuze b'omu Yerusaalemu n'obaggya ku Mukama, nga Ahabu n'ab'ezzadde lye bwe baggya Abayisirayeli ku Mukama. N'ossaako n'okutta baganda bo, abaana ba kitaawo, abaali abantu abalungi okusinga ggwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye n'otambulira mu kkubo lya bassekabaka ba Isiraeri, n'oyenza Yuda n'ababeera mu Yerusaalemi, ng'ennyumba ya Akabu bwe yakola; era, n'okutta watta baganda bo ab'omu nnyumba ya kitaawo, abaakusinga obulungi: