2 Chronicles 21:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe ojja kulwala obulwadde obubi ennyo obw'olubuto. Obulwadde bujja kugenda bukula buli lunaku okutuusa ebyenda byo lwe birifuluma.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ate naawe olirwala obulwadde obw’amaanyi mu lubuto, erireetera ebyenda byo okuvaayo, buli lunaku.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naawe wennyini olirwala endwadde enzibu, erikuluma buli lunaku. Ebyenda byo birirwala, okutuusa lwe bikuvaamu, endwadde erikulumira ddala.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naawe wennyini olirwala endwadde enkakali, ebyenda byo nga birwadde, okutuusa lwe birikuvaamu olw'endwadde eyo, erikuluma obutakuweeza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naawe oliba n'endwadde nnyingi ebyenda byo nga; birwadde okutuusa ebyenda byo lwe birikuvaamu olw'endwadde eya buli lunaku.