2 Chronicles 21:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'asiikuulira Yoramu obukambwe bw'Abafilisitiini n'Abawarabu abaabeeranga okumpi n'Abakuusi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’asitusa obusungu bw’Abafirisuuti n’Abawalabu abaabeeranga okumpi n’Abaesiyopiya eri Yekolaamu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama n'ateeka mu Bafirisuuti n'Abawalabu abaali baliraanye Abaesiyopya, omwoyo ogw'okulwanyisa Yekolaamu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waaliwo Abafilistiya n'Abawarabu abaali baliraanye Abeetiyopiya. Mukama n'abateekamu omwoyo ogw'okulwanyisa Yehoraamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mukama n'akubiriza omwoyo gw'Abafirisuuti eri Yekolaamu, n'ogw'Abawalabu abaliraanye Abaesiyopya: