2 Chronicles 21:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baalumba Yuda, ensi ne bagizinda, ne banyaga ebintu byonna ebyasangibwa mu nnyumba ya kabaka, wamu ne batabani be ne bakazi be; teyasigaza mutabani n'omu okuggyako Yowakazi omuggalanda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne balumba Yuda, ne bakiwangula, ne batwala ebintu byonna ebyali mu lubiri lwa kabaka, ne batabani be, ne bakazi be, ne wataba mutabani we n’omu eyalekebwa okuggyako Yekoyakaazi, omuggalanda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne balumba Yuda, ne bakiwangula ne bayingiramu ne banyaga ebintu byonna ebyali mu nnyumba ya kabaka. Ne banyaga batabani be, ne bakazi be bonna okuggyako Yekoyakaazi, mutabani we asingayo obuto.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne balumba Buyudaaya, ne bagiwangula, ne banyaga ebintu byonna mu lubiri lwa kabaka. Ne banyaga ne bakazi be n'abaana be bonna okuggyako Ahaaziya mutabani we asingayo obuto.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne batabaala Yuda, ne bakiwagula ne bayingiramu ne banyaga ebintu byonna ebyalabika mu nnyumba ya kabaka ne batabani be ne bakazi be; ne watamusigalirawo mwana n'omu wabula Yekoyakaazi omuto ow'oku baana be,