2 Chronicles 21:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennaku ne zigenda nga ziyitawo, nga wayise emyaka ng'ebiri ebyenda bye ne bifuluma olw'obulwadde, n'afa endwadde embi. Abantu tebaamukumira kkoomi nga bwe baalikumiranga bajjajjaabe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ebiro bwe byayitawo, nga wayiseewo emyaka ebiri, ebyenda bye ne bitanula okumuvaamu, olw’obulwadde, n’afa mu bulumi bungi. Abantu be ne batamukumira lumbe, nga bwe baali bakoledde bajjajjaabe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka, nga wayiseewo emyaka ebiri, ebyenda bye ne bimuvaamu, olw'endwadde ye, n'afiira mu bulumi bungi nnyo. Abantu be ne batamukumira kyoto kumukungubagira nga bwe kyakolebwanga ku bajjajjaabe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo olwatuuka, nga wayiseewo emyaka ebiri, ebyenda bye ne bimuvaamu, olw'endwadde ye, n'afiira mu bulumi obutagambika. Abantu be ne batamukumira kyoto kumukungubagira nga bwe kyakolebwanga ku bajjajjaabe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka ebiro bwe byayitawo emyaka ebiri nga giwedde ebyenda bye ne bimuvaamu olw'endwadde ye n'afa endwadde nnyingi. Abantu be ne batamunyookereza ng'okunyookeza kwa bajjajjaabe.