2 Chronicles 21:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoramu yalina baganda be, batabani ba Yosafati: Azariya, Yekiyeli, Zakariya, Azariya, Mikayeli ne Sefatiya. Bano bonna baali batabani ba Yosafati kabaka wa Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yekolaamu yalina baganda be, batabani ba Yekosafaati, nga be ba Azaliya, ne Yekyeri, ne Zekkaliya, ne Azaliya, ne Mikayiri ne Sefatiya. Abo bonna bali baana ba Yekosafaati kabaka wa Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yekolaamu yalina baganda be: Azaliya, Yekyeri, Zekkaliya, Azaliya, Mikayiri ne Sefatiya, abo bonna batabani ba Yekosafaati kabaka wa Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yehoraamu yalina baganda be: Azariya ne Yehiyeeli, ne Zekariya, ne Azariya, ne Mikayeli, ne Sefatiya, bonna batabani ba Yehosafaati kabaka wa Buyudaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era yalina ab'oluganda batabani ba Yekosafaati, Azaliya ne Yekyeri ne Zekkaliya ne Azaliya ne Mikayiri ne Sefatiya: abo bonna batabani ba Yekosafaati kabaka wa Isiraeri.