2 Chronicles 21:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okufuuka kabaka yali wa myaka makumi asatu mu ebiri, mu Yeruzaalemu n'afugiramu emyaka munaana. Yafa naye tewali yamusaalirwa; ne bamuziika mu Kibuga kya Dawudi, naye nga si mu biggya bya bakabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yekolaamu yali wa myaka amakumi asatu mu ebiri bwe yatandika okuba kabaka, era n’afugira mu Yerusaalemi emyaka munaana. Okufa kwe tekwaleetera muntu n’omu kwejjusa, n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi naye si ku biggya bya bassekabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yali wa myaka asatu mu ebiri (32) we yatandikira okufuga, n'afugira emyaka munaana mu Yerusaalemi. Bwe yafa tewali yamusaalirwa, ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi, naye si mu masiro ga bassekabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yali wa myaka amakumi asatu mu ebiri we yatandikira okufuga. N'afugira emyaka munaana mu Yerusaalemu. Bwe yakisa omukono, tewali yamusaalirwa. Ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi, wabula nga si mu masiro ga bassekabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yali yaakamaze emyaka amakumi asatu mu ebiri bwe yatanula okufuga, n'afugira emyaka munaana mu Yerusaalemi: n'agenda nga tewali amwegomba; ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi, naye si mu masiro ga bassekabaka.