2 Chronicles 21:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kitaabwe yali abawadde ebirabo bingi ebya ffeeza ne zaabu n'ebintu eby'omuwendo ko ebibuga ebiriko ebigo mu Yuda; bwo obwakabaka yabuwa Yoramu, kubanga ye yali omuggulanda we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kitaabwe yabawa eby’obugagga bingi, ebya ffeeza ne zaabu, n’ebintu eby’omuwendo ebirala, wamu n’ebibuga ebiriko bbugwe mu Yuda, naye obwakabaka n’abuwa Yekolaamu kubanga ye yali omuggulanda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kitaabwe n'abawa ebintu bingi: ffeeza ne zaabu n'ebintu ebirala eby'omuwendo omungi, wamu n'ebibuga ebiriko ebigo ebigumu mu Yuda, naye obwakabaka n'abuwa Yekolaamu, kubanga ye yali omubereberye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kitaabwe yabawa ebintu bingi: ffeeza ne zaabu n'ebintu ebirala eby'omuwendo ennyo, awamu n'ebibuga mu Buyudaaya, ebiriko ebigo ebigumu. Kyokka obwakabaka n'abuwa Yehoraamu, kubanga ye yali omuggulanda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kitaabwe n'abawa ebirabo ebikulu, zaabu ne ffeeza n'ebintu eby'omuwendo omungi, n'ebibuga ebiriko enkomera mu Yuda: naye obwakabaka n'abuwa Yekolaamu, kubanga ye yali omubereberye.