2 Chronicles 21:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoramu bwe yamala okwenyweza ku bwakabaka bwa kitaawe, n'atta baganda be bonna n'ekitala, n'abamu ku bakungu ba Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yekolaamu bwe yamala okwenywereza ddala ku ntebe ye ey’obwakabaka, n’atta baganda be bonna n’ekitala, era n’abakungu abamu aba Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yekolaamu bwe yamala okutuuzibwa ku ntebe ey'Obwakabaka bwa kitaawe, era nga yeenywezezza, n'alyoka atta baganda be bonna n'ekitala, n'abamu ab'oku bakungu ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yehoraamu bwe yamala okutuuzibwa ku ntebe ey'Obwakabaka bwa kitaawe, n'okwenyweza, n'atta baganda be bonna, n'abamu ku bakungu Abayisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yekolaamu bwe yamala okulinnyisibwa mu bwakabaka bwa kitaawe, era nga yeenywezezza n'alyoka atta baganda be bonna n'ekitala n'abamu ab'oku bakulu ba Isiraeri.