2 Chronicles 21:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yatambulira mu makubo ga bakabaka ba Yisirayeli, ng'ennyumba ya Akabu bwe yali ekoze, kubanga yali awasizza muwala wa Akabu. Yakola ekibi mu maaso g'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’atambulira mu makubo ga bakabaka ba Isirayiri, ng’ennyumba ya Akabu bwe yakolanga, era n’okuwasa n’awasa muwala wa Akabu. N’akola eby’ebibi mu maaso ga Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'atambulira mu kkubo lya bassekabaka ba Isiraeri, nga ab'ennyumba ya Akabu bwe baakola, kubanga yawasa muwala wa Akabu, n'akola ebibi n'anyiiza Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agoberera empisa za bassekabaka ba Yisirayeli ze baalina, ng'ab'omu zzadde lya Ahabu bwe baayisanga. Kubanga yawasa muwala wa Ahabu, n'akola ebibi, n'anyiiza Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atambulira mu kkubo lya bassekabaka ba Isiraeri ng'ennyumba ya Akabu bwe baakolanga: kubanga yafumbirwa muwala wa Akabu: n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi.