2 Chronicles 21:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye olw'okubeera endagaano Omukama gye yali akoze naye, Omukama n'atayagala kuzikiriza nnyumba ya Dawudi. Anti yali asuubizza okulekerawo Dawudi n'ezzadde lye omumuli ennaku zonna
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Newaakubadde ng’ebyo byonna byali bwe bityo, Mukama teyayagala kusaanyaawo nnyumba ya Dawudi, kubanga yali akoze endagaano ne Dawudi, ate ng’asuubizza okukuuma ettabaaza ye n’eya bazzukulu be ng’eyaka emirembe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Mukama teyayagala kuzikiriza nnyumba ya Dawudi olw'endagaano gye yakola ne Dawudi, era nga yamusuubiza nti ab'omu zzadde lye banaafuganga emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Mukama teyayagala kuzikiriza ba mu nnyumba ya Dawudi, kubanga yali akoze endagaano ne Dawudi, era ng'amusuubizza nti bazzukulu be bulijjo be banaafuganga emirembe gyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Mukama teyayagala kuzikiriza nnyumba ya Dawudi olw'endagaano gye yalagaana ne Dawudi, era nga bwe yasuubiza okumuwa ettabaaza n'abaana be emirembe gyonna.