2 Chronicles 21:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoramu n'agendayo n'abagabe be n'ebigaali bye byonna. Ekiro Abeedomu ne bamuzingiza n'abagabe b'ebigaali, kyokka n'asituka n'awaguza mu kiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yekolaamu n’agendayo n’abakungu be n’amagaali ge gonna. Abayedomu ne bamutaayiza ye n’abaduumizi ab’amagaali ge mu kiro, naye n’abagolokokerako n’abakuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yekolaamu n'abaduumizi be ne basala ensalo, ne bagenda n'amagaali ge gonna okulumba Edomu. Abaedomu ne bamuzingiza, naye ekiro ne basobola okuwaguza ne bagenda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yehoraamu n'abakungu be ne basala ensalo, ne bagenda n'amagaali ge gonna okulumba Edomu. Nga bali eyo, ye n'abaduumizi b'amagaali ge, ne beetooloolwa Abeedomu. Naye ekiro ne basobola okuwaguza ne bagenda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yekolaamu n'asomoka n'abaami be n'amagaali ge gonna wamu naye: n'agolokoka kiro n'akuba Abaedomu abaamuzingiza, n'abaami b'amagaali.