2 Chronicles 22:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu b'omu Yeruzaalemu ne bassaawo Akaziya mutabani we asingayo obuto y'aba amusikira, anti abalenzi abakulu bonna abanyazi abaazinda olusiisira awamu n'Abawarabu baali babasse. Akaziya mutabani wa Yoramu kabaka wa Yuda n'atandika okufuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu ab’omu Yerusaalemi ne bafuula Akaziya, mutabani wa Yekolaamu omuggalanda, kabaka, kubanga abasajja abanyazi abajja n’Abawalabu baali bamaze okutta abaana be bonna abakulu. Awo Akaziya mutabani wa Yekolaamu n’atandika okufuga Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu ab'omu Yerusaalemi ne bafuula Akaziya, mutabani wa Yekolaamu asingayo obuto, kabaka, kubanga ekibiina ky'abasajja abajja n'Abawalabu mu lusiisira baali basse abakulu bonna. Awo Akaziya mutabani wa Yekolaamu n'atandika okufuga Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ahaaziya asingayo obuto mu batabani ba Yehoraamu, abatuuze b'omu Yerusaalemu gwe baafuula omusika wa kitaawe, kubanga ekibinja ky'abasajja abajja n'Abawarabu mu lusiisira, kyali kisse abaana abakulu bonna. Bw'atyo Ahaaziya mutabani wa Yehoraamu kabaka wa Buyudaaya n'afuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaabeeranga mu Yerusaalemi ne bafuula Akaziya omwana we omuto kabaka mu kifo kye: kubanga ekibiina ky'abasajja abajja n'Abawalabu mu lusiisira baali basse abakulu bonna. Awo Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n'afuga.