2 Chronicles 22:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ataliya nnyina wa Akaziya yalaba mutabani we afudde, n'asituka asaanyeewo ezzadde lya kabaka lyonna olw'ennyumba ya Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Asaliya, nnyina Akaziya bwe yalaba nga mutabani we afudde, n’asitula olutalo era n’azikiriza ennyumba yonna ey’obwakabaka bwa Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Asaliya, nnyina Akaziya, bwe yalaba nga mutabani omwana we attiddwa, n'asituka, n'azikiriza ennyumba yonna ey'obwakabaka bwa Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Ataliya nnyina Ahaaziya, bwe yalaba nga mutabani we attiddwa, n'asituka, n'azikiriza bonna ab'olulyo olulangira aba Buyudaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Asaliya nnyina Akaziya bwe yalaba omwana we ng'afudde, n’agolokoka n'azikiriza ezzadde lyonna erya kabaka ery'ennyumba ya Yuda.