2 Chronicles 22:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Yoseba muwala wa kabaka Yoramu yakwata Yowasi mutabani wa Akaziya n'amubbayo mu baana ba kabaka abaali bagenda okuttibwa. Yamussa mu kisenge ekisulwamu wamu n'omujjanjabi we, ne bamukweka Ataliya. Bw'atyo Yoseba, muwala wa kabaka Yoramu era mukazi wa Yoyada kabona, kubanga yali mwannyina wa Akaziya yakweka Ataliya omwana, Ataliya n'atamutta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yekosabeyaasi, muwala wa kabaka Yekolaamu, n’abba Yowaasi mutabani wa Akaziya okuva mu balangira abaali bagenda okuttibwa, n’amukweka ye n’omukozi we mu kimu ku bisenge. Awo Yekosabeyaasi muwala wa kabaka Yekolaamu, ate nga ye yali mukyala wa Yekoyaada kabona, n’akweka omwana, Asaliya aleme okumutta. Yekosabeyaasi, yali mwannyina Akaziya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yekosabeyaasi, muwala wa kabaka, yali afumbiddwa Yekoyaada, kabona, n'atwala Yowaasi mu bubba, n'amuggya mu baana ba kabaka abali bagenda okuttibwa, n'amukweka n'omulezi we, mu kisenge ekisulwamu. Bwatyo n'amuwonya okuttibwa Asaliya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ahaaziya yalina mwannyina ayitibwa Yehosebaati. Mwannyina oyo yali afumbiddwa Yehoyaada kabona. Yehosebaati n'awonyaawo mu bubba Yowaasi, omu ku batabani ba Ahaaziya, ng'amuggya mu balangira abaali bagenda okuttibwa, n'amukweka n'omulezi we, mu kisenge ekisulwamu. Bw'atyo n'amuwonya okuttibwa Ataliya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Yekosabeyaasi muwala wa kabaka n'atwala Yowaasi mutabani wa Akaziya n'amubba n'amuggya mu baana ba kabaka abattibwa, n'amuteeka n'omulezi we, mu kisenge ekisulibwamu. Awo Yekosabeyaasi muwala wa kabaka Yekolaamu muka Yekoyaada kabona, (kubanga yali muganda wa Akaziya,) n'amukweka Asaliya, n'atamutta.