2 Chronicles 22:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akaziya yafuuka kabaka nga wa myaka amakumi abiri mu ebiri; yafugira omwaka gumu mu Yeruzaalemu. Nnyina ye yali Ataliya muzzukulu wa Omuri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akaziya yalina emyaka amakumi ana mu ebiri bwe yatandika okufuga, era n’afugira omwaka gumu mu Yerusaalemi. Erinnya lya nnyina yali Asaliya, muzzukulu wa Omuli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akaziya yali wa myaka ana mu ebiri (42) we yatandikira okufuga, n'afugira omwaka gumu mu Yerusaalemi. Nnyina yali Asaliya, muwala wa Omuli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ahaaziya yali wa myaka amakumi ana mu ebiri, n'afugira omwaka gumu mu Yerusaalemu. Nnyina yali Ataliya, muwala wa Ahabu, era muzzukulu wa Omuri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akaziya yali yaakamaze emyaka amakumi ana mu ebiri bwe yatanula okufuga; n’afugira omwaka gumu mu Yerusaalemi. Ne nnyina erinnya lye yali Asaliya muwala wa Omuli.