2 Chronicles 22:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakola ebibi mu maaso g'Omukama ng'ennyumba ya Akabu bwe yakola; anti kitaawe bwe yafa, bo ne bafuuka ababuulirizi be, ekitaali kirungi gy'ali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, ng’ennyumba ya Akabu bwe yakola, kubanga oluvannyuma olw’okufa kwa kitaawe be baamuwabyanga, okukola ebikyamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akolanga ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ng'ennyumba ya Akabu bwe baakolanga: kubanga abo be baamuwanga amagezi ag'okumuzikiriza, kitaawe ng'amaze okufa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'akolanga ebibi n'anyiiza Mukama, ng'ab'ennyumba ya Ahabu bwe baakolanga, kubanga kitaawe ng'amaze okufa, abo be baamuwanga amagezi ag'okumuzikiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akolanga ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ng'ennyumba ya Akabu bwe baakolanga: kubanga abo be baamuweereranga, kitaawe ng'amaze okufa, okumuzikiriza.