2 Chronicles 22:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yagoberera amagezi gaabwe, n'agenda mu lutalo wamu ne Yoramu mutabani wa Akabu kabaka wa Yisirayeli okutabaala Kazayeli kabaka wa Aramu e Ramoti-Gileyaadi. Abaaramu ne bafumita Yoramu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era naye yagobereranga ebirowoozo byabwe, era n’agenda ne Yekolaamu, mutabani wa Akabu kabaka wa Isirayiri okutabaala Kazayeeri kabaka w’e Busuuli e Lamosugireyaadi. Abasuuli ne bafumita Yolaamu ebiwundu
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era yagobereranga amagezi ge bamuwanga, n'agenda ne Yekolaamu, mutabani wa Akabu kabaka wa Isiraeri, okulwanyisa Kazayeeri, kabaka w'e Busuuli e Lamosugireyaadi. Abasuuli ne bafumita Yolaamu ekiwundu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ng'agoberera amagezi ge baamuwa, yeetaba wamu ne Yoraamu mutabani wa Ahabu kabaka wa Yisirayeli mu lutalo, okulwanyisa Hazayeeli, kabaka wa Siriya, e Ramoti Gileyaadi. Abassiriya ne bafumita Yoraamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era yatambulanga ng'okuteesa kwabwe bwe kwali n'agenda ne Yekolaamu mutabani wa Akabu kabaka wa Isiraeri okulwana ne Kazayeeri kabaka w'e Busuuli e Lamosugireyaadi: Abasuuli ne bafumita Yolaamu ekiwundu.