2 Chronicles 22:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoramu n'akomawo e Yezureeli ajjanjabibwe ebiwundu bye yali afunidde e Rama ng'alwana ne Kazayeli kabaka wa Aramu. Akaziya mutabani wa Yoramu kabaka wa Yuda n'aserengeta e Yezureeli alabe ku Yoramu mutabani wa Akabu kubanga yali afunye obuvune.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era n’addayo e Yezuleeri okujjanjabibwa ebiwundu bye yali afunidde e Laama, bwe yali ng’alwana ne Kazayeeri kabaka w’e Busuuli. Awo Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n’agenda okulaba ku Yolaamu mutabani wa Akabu olw’ebisago ebyali bimutuusibbwako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yolaamu n'akomawo e Yezuleeri okujjanjabibwa ebiwundu bye baamufumitira e Laama, bwe yali ng'alwana ne Kazayeeri, kabaka w'e Busuuli. Akaziya mutabani wa Yekolaamu, kabaka wa Yuda n'agenda okulaba Yekolaamu mutabani wa Akabu, e Yezuleeri obulwadde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yoraamu n'akomawo e Yezireeli, amale okussuuka ebiwundu bye baamufumitira e Raama, ng'alwanyisa Hazayeeli, kabaka wa Siriya. Awo Ahaaziya mutabani wa Yehoraamu kabaka wa Buyudaaya n'agendayo okumulaba obulwadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'akomawo okuwonera e Yezuleeri ebiwundu bye baamufumitira e Laama bwe yalwana ne Kazayeeri kabaka w'e Busuuli. Azaliya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n'aserengeta okulambula Yekolaamu mutabani wa Akabu e Yezuleeri kubanga alwadde: