2 Chronicles 22:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda yeeyamba okukyala kwa Akaziya ewa Yoramu azikirize Akaziya. Akaziya ng'atuuse eyo, yagenda ne Yoramu okusisinkana Yewu mutabani wa Nimusi, Omukama gwe yali asiize omuzigo azikirize ennyumba ya Akabu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kyali kyategekebwa Katonda, nti okugwa kwa Akaziya kulimutuukako ng’akyalidde Yolaamu. Awo Akaziya bwe yatuuka eyo, n’agenda ne Yolaamu okusisinkana Yeeku mutabani wa Nimusu, Mukama gwe yali afuseeko amafuta okuzikiriza ennyumba ya Akabu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kyali kyategekebwa Katonda, nti okuzikirira kwa Akaziya kulimutuukako ng'akyalidde Yolaamu: kubanga bwe yatuukayo ate n'agenda ne Yekolaamu okusisinkana Yeeku mutabani wa Nimusu, Mukama gwe yali afuseeko amafuta okuzikiriza ennyumba ya Akabu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula Mukama yategeka nti okuzikirira kwa Ahaaziya kujja kumuviira mu kukyalira Yoraamu. Kubanga bwe yatuukayo, n'agenda ne Yoraamu okusisinkana Yeehu mutabani wa Nimusi, Mukama gwe yali alonze okuzikiriza ab'ennyumba ya Ahabu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era okuzikirira kwa Akaziya kwava eri Katonda, kubanga yagenda eri Yolaamu: kubanga bwe yajja, n'agenda ne Yekolaamu eri Yeeku mutabani wa Nimusu Mukama gwe yali afuseeko amafuta okumalawo ennyumba ya Akabu.