2 Chronicles 22:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yewu bwe yali atuukiriza ekyasalirwa ennyumba ya Akabu, yasangiriza abakungu ba Yuda ne batabani ba baganda ba Akaziya abaali bamuweereza, n'abatta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yeeku bwe yali ng’asalira ennyumba ya Akabu omusango, n’asanga abakungu ba Yuda, ne batabani ba baganda ba Akaziya, abaaweerezanga Akaziya, n’abatta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka Yeeku bwe yali ng'atuukiriza ekibonerezo Katonda kye yasalira ab'ennyumba ya Akabu, n'asanga abakulu ba Yuda n'abaana ba baganda ba Akaziya abaali bawerekedde Akaziya, n'abatta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo olwatuuka, Yeehu bwe yali ng'atuukiriza ekibonerezo Katonda kye yasalira ab'ennyumba ya Ahabu, n'asanga abakungu ba Buyudaaya, n'abaana ba baganda ba Ahaaziya, abaali bawerekedde Ahaaziya ku bugenyi. Yeehu n'abatta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka Yeeku bwe yali ng'akomekkereza omusango ku nnyumba ya Akabu n'asanga abakulu ba Yuda n'abaana ba baganda ba Akaziya nga baweereza Akaziya, n'abatta.