2 Chronicles 22:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo n'awenja Akaziya; basajja be ne bamukwatira mu Samariya gye yali yeekwese, ne bamuleeta awali Yewu, n'attibwa. Ne bamuziika, kubanga baagamba nti: “Abadde mutabani wa Yosafati, eyanoonya Omukama n'Omutima gwe gwonna.” Bwe kityo tewaali n'omu mu nnyumba ya Akaziya yasigalawo yali asobola kufuga bwakabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’oluvannyuma n’anoonya Akaziya, era abasajja be ne bamuwambira e Samaliya gye yali yeekwese, n’aleetebwa ewa Yeeku n’attibwa. Ne bamuziika nga boogera nti, “Ono ye muzzukulu wa Yekosafaati, eyanoonya Mukama, n’omutima gwe gwonna.” Era mu nnyumba ya Akaziya ne wataba n’omu eyayinza okusikira obwakabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'alagira banoonye Akaziya, ne bamukwatira gye yali yeekwese mu Samaliya, ne bamuleeta eri Yeeku ne bamutta, ne bamuziika, kubanga baagamba nti, “Ye muzzukulu wa Yekosafaati eyanoonya Mukama n'omutima gwe gwonna.” Ennyumba ya Akaziya n'etesigalamu muntu wa maanyi okufuuka kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'alagira banoonye Ahaaziya, ne bamukwatira gye yali yeekwese mu Samariya, ne bamuleeta eri Yeehu, ne bamutta, ne bamuziika. Kubanga baagamba nti: “Ye muzzukulu wa Yehosafaati, eyafuba ennyo okuweereza Mukama. Ennyumba ya Ahaaziya n'etesigalamu muntu wa maanyi okufuga obwakabaka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'anoonya Akaziya ne bamukwata, (era yali nga yeekwese mu Samaliya,) ne bamuleeta eri Yeeku ne bamutta; ne bamuziika, kubanga baayogera nti Ye mutabani wa Yekosafaati eyanoonya Mukama n'omutima gwe gwonna. Ennyumba ya Akaziya n'eteba na maanyi okunyweeza obwakabaka.