2 Chronicles 23:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogwomusanvu, Yoyada ne yeekemba; yakola endagaano n'abagabe b'ebikumi: Azariya mutabani wa Yerokamu, Yisimayeli mutabani wa Yokanani, Azariya mutabani wa Obedi, Maaseeya mutabani wa Adaaya ne Elisafati mutabani wa Zikuri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mu mwaka ogw’omusanvu Yekoyaada n’alaga obuyinza bwe. N’akola endagaano n’abaduumizi ab’ebibinja eby’ekikumi, era baali Azaliya mutabani wa Yekokamu, ne Isimayiri mutabani wa Yekokanani, ne Azaliya mutabani wa Obedi, ne Maaseya mutabani wa Adaya, ne Erisafaati mutabani wa Zikuli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mu mwaka ogw'omusanvu Yekoyaada naakozesa obuyinza bwe, n'akola endagaano n'abaduumizi ab'ebibinja by'ekikumi; Azaliya mutabani wa Yerokamu, Isimaeri mutabani wa Yekokanani, Azaliya mutabani wa Obedi, Maaseya mutabani wa Adaya, ne Erisafaati mutabani wa Zikuli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo mu mwaka ogw'omusanvu, Yehoyaada ne yeevaamu, n'alagaana n'abaduumizi mu magye, abaduumira abaserikale ekikumi kikumi. N'alagaana ne Azariya, mutabani wa Yerohaamu, ne Yisimayeli, mutabani wa Yehohanani, ne Azariya, mutabani wa Obedi ne Maaseya, mutabani wa Adaya, ne Elisafati, mutabani wa Zikuri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mu mwaka ogw'omusanvu Yekoyaada ne yeenyweza n'alagaanya abaami b'ebikumi, Azaliya mutabani wa Yerokamu ne Isimaeri mutabani wa Yekokanani ne Azaliya mutabani wa Obedi ne Maaseya mutabani wa Adaya ne Erisafaati mutabani wa Zikuli.