2 Chronicles 23:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakuumi, buli omu ng'akutte ebyokulwanyisa bye, yabasimba nga beebunguludde omwaliiro n'Ekiggwa, okuva ku ludda olw'emaserengeta olw'Ekiggwa okutuuka ku ludda olw'emambuka, nga beebunguludde kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era n’ateekateeka buli musajja okuba omukuumi wa kabaka, nga buli omu ku bo akutte ekyokulwanyisa mu mukono gwe, nga beetoolodde kabaka, n’okwetooloola ekyoto ne yeekaalu, okuva mu bukiikaddyo, okutuuka ku bukiikakkono obwa yeekaalu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'ateeketeeka abantu bonna okukuuma kabaka, buli muntu ng'akutte eky'okulwanyisa kye, nga beetoolodde kabaka, ekyoto, ne Yeekaalu, okuva ku bukiikaddyo, okutuuka ku bukiikakkono, obwa Yeekaalu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'assaawo abantu bonna okukuuma kabaka, buli omu ng'akutte ekyokulwanyisa kye mu ngalo, okuva ku ludda olwa ddyo olw'Essinzizo, okutuuka ku ludda lwalyo olwa kkono, okwetooloola alutaari n'Essinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'assaawo abantu bonna, buli muntu ng'akutte ekyokulwanyisa kye mu mukono gwe, okuva ku luuyi lw'ennyumba olwa ddyo okutuuka ku luuyi lw'ennyumba olwa kkono, okuliraana ekyoto n’ennyumba awali kabaka enjuyi zonna.