2 Chronicles 23:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoyada ne batabani be ne bafulumya mutabani wa kabaka, ne bamutikkira engule, ne bamukwasa n'ekitabo ky'Endagaano, ne bamulangirira ku bwakabaka. Yoyada ne batabani be ne bamusiiga omuzigo, ne bayoogaana nti: “Kabaka awangaale!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yekoyaada ne batabani be ne bafulumya mutabani wa kabaka ne bamutikkira engule ey’obwakabaka, ne bakola endagaano, era ne bamulangirira okuba kabaka. Ne bamufukako amafuta, ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Wangaala kabaka!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'afulumya omwana wa kabaka n'amutikira engule ey'obwakabaka ku mutwe, n'amukwasa ekiwandiiko ekirimu amateeka agafuga obwakabaka. Bwatyo n'afuulibwa kabaka, Yekoyaada ne batabani be ne bamufukako amafuta, ne bagamba nti, “ Kabaka abe mulamu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'afulumya omulangira, n'amutikkira engule ku mutwe, n'amukwasa ekiwandiiko ekirimu amateeka agafuga obwakabaka. Bw'atyo n'afuulibwa kabaka. Yehoyaada kabona ne batabani be ne basiiga Yowaasi omuzigo, ne bagamba nti: “Kabaka, wangaala!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne bafulumya omwana wa kabaka ne bamutikkira engule ey'obwakabaka ne bamuwa obujulirwa; ne bamufuula kabaka, Yekoyaada ne batabani be ne bamufukako amafuta; ne boogera nti Kabaka abe mulamu.