2 Chronicles 23:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ataliya bwe yawulira oluyoogaano lw'abantu nga badduka, nga bakubira kabaka emizira, n'agenda gye bali ku Kiggwa ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Asaliya bwe yawulira oluyoogaano lw’abantu nga badduka era nga batendereza kabaka, n’agenda gye bali mu yeekaalu ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Asaliya bwe yawulira oluyoogaano lw'abantu, nga badduka era nga batendereza kabaka, n'ajja eri abantu mu nnyumba ya Mukama:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Ataliya bwe yawulira oluyoogaano lw'abantu, nga beetawula era nga batendereza kabaka, n'ayingira mu Ssinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Asaliya bwe yawulira oluyoogaano lw'abantu, nga baddukana era nga batendereza kabaka, n'ajja eri abantu mu nnyumba ya Mukama: