2 Chronicles 23:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yatunula, nga ku kabaka ono ayimiridde kumpi n'empagi ye ku mulyango. Abagabe n'abafuuwa amakondeere nga bamuyimiridde awo, abantu bonna ab'omu ggwanga nga basanyuka, bafuuwa amakondeere, n'abayimbi nga balina ebivuga nga bakulembedde ennyimba ezitendereza, Ataliya n'ayuza ebyambalo bye, n'aleekaana nti: “ Luno lukwe! Luno lukwe!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’atunula, laba, kabaka ng’ayimiridde okuliraana empagi ye ku mulyango, n’abakungu n’abafuuwa amakondeere nga bayimiridde okumwetooloola, era nga n’abantu bonna ab’ensi nga basanyuka nga bafuuwa n’amakondeere, n’abayimbi nga bakutte ebivuga byabwe nga bakulembedde okujaguza. Awo Asaliya n’ayuza ebyambalo bye, n’aleekaanira waggulu nti, “Bujeemu! Bujeemu!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yatuuka bw'ati nnalaba kabaka ng'ayimiridde okuliraana empagi ye ku mulyango, n'abakungu n'abafuuwa amakkondeere nga bayimiridde okumwetooloola, era nga n'abantu bonna ab'ensi nga basanyuka nga bafuuwa amakkondeere, n'abayimbi nabo nga bakuba ebivuga byabwe, nga bakulembera ennyimba okutendereza. Awo Asaliya n'ayuza ebyambalo bye n'agamba nti, “Bujeemu, bujeemu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yatunulayo bw'ati, n'alaba kabaka gwe baali baakateekako, ng'ayimiridde okumpi n'omulyango awali empagi awayimirirwa bakabaka, ng'abakulu mu magye n'abafuuyi b'amakondeere bamuli kumpi. Bannansi bonna baali basanyuka era nga bafuuwa amakondeere. N'abayimbi nabo baali bakuba ebivuga byabwe, ne bakulembera ennyimba okutendereza. Ataliya n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, n'agamba nti: “Mundiddemu olukwe, mundiddemu olukwe!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'atunula, kale, laba, kabaka ng'ayimiridde awali empagi ye awayingirirwa, n'abaami n'amakondeere nga baliraanye kabaka; n'abantu bonna ab'ensi eyo ne basanyuka ne bafuuwa amakondeere; era n'abayimbi nabo ne bakuba ebintu ebivuga ne baleetereza oluyimba olw'okutendereza. Awo Asaliya n'ayuza ebyambalo bye n'ayogera nti Bujeemu, bujeemu.