2 Chronicles 23:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoyada kabona n'asindika abagabe b'ebikumi abaali ku bakuumi, n'abagamba nti: “Mumufulumye mumuggye mu nnyiriri; buli yenna anaamugoberera attibwe n'ekitala.” Anti kabona yali agambye nti: “Temumuttira mu Kiggwa ky'Omukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yekoyaada kabona n’atuma abaduumizi ab’ebibinja eby’ekikumi, abaavunaanyizibwanga eggye, n’abagamba nti, “Mumufulumye mumuteeke wakati w’enyiriri, mutte n’ekitala omuntu yenna anaamugoberera.” Kabona yali ayogedde nti, “Temumuttira mu yeekaalu ya Mukama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yekoyaada kabona n'ayita abaduumizi b'ebibinja by'ekikumi, n'abagamba nti, “Temumuttira mu nnyumba ya Mukama, mumufulumye nga mumuyisa wakati mu nnyiriri. Buli anaamugoberera okumutaasa mu mutte.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yehoyaada kabona n'ayita abaduumizi b'abaserikale ekikumi kikumi, n'abagamba nti: “Temumuttira mu Ssinzizo. Mumufulumye nga mumuyisa mu nnyiriri. Buli anaamugoberera okumutaasa mumutte.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yekoyaada kabona n'afulumya abaami b'ebikumi abaateekebwawo ku ggye, n'abagamba nti Mumufulumye wakati w'ennyiriri; n'oyo anaamugoberera attibwe n'ekitala; kubanga kabona yayogera nti Temumuttira mu nnyumba ya Mukama.