2 Chronicles 23:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoyada n'akola endagaano n'abantu ne kabaka nti banaabeeranga bantu ba Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yekoyaada n’akola endagaano wakati we n’abantu bonna era ne kabaka, nti baliba bantu ba Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yekoyaada n'akola endagaano nga yeegasse wamu n'abantu bonna ne kabaka, nti banabeerenga abantu ba Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yehoyaada n'alagaanya nga yeegasse wamu ne kabaka era n'abantu bonna, nti banaabeeranga bantu ba Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yekoyaada n'alagaana endagaano naye yennyini n'abantu bonna ne kabaka, babeerenga abantu ba Mukama.