2 Chronicles 23:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bonna ne bayiikira ekiggwa kya Baali, ne bakiyiwa ku ttaka; baamenyaamenya obulere emyaliiro n'ebifaananyi bye, ne Mattani kabona wa Baali ne bamuttira mu maaso g'emyaliiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bonna ne bagenda mu ssabo lya Baali ne balimenyaamenya, ne bamenyaamenya n’ebyoto bye n’ebifaananyi bye, era ne battira ne Matani kabona wa Baali mu maaso g’ebyoto bya Baali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu bonna ne bagenda awali essabo lya Baali, ne balimenyerawo ddala, ebyoto bye n'ebifaananyi bye ne babimenyaamenya, era ne battira Matani, kabona wa Baali, mu maaso g'ebyoto.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bonna ne bagenda awali essabo lya Baali, ne balimenyerawo ddala. N'alutaari ze n'ebifaananyi bye ne babimenyaamenya. Ne battira Matani kabona wa Baali mu maaso ga zaalutaari.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abantu bonna ne bagenda mu ssabo lya Baali, ne balimenyamenya; ebyoto bye n'ebifaananyi bye ne babimenyera ddala, ne battira Matani kabona wa Baali mu maaso g'ebyoto.