2 Chronicles 23:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoyada n'assa abakuumi ku Kiggwa ky'Omukama nga batwalibwa bakabona Abaleevi Dawudi be yali atadde ku mirimu egy'enjawulo mu Kiggwa ky'Omukama, okuweereza Omukama ebitambiro ebyokye, nga bwe kyawandiikibwa mu Tteeka lya Musa, nga basanyufu, bayimba, nga Dawudi bwe yagamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yekoyaada n’assaawo abanaalabiriranga yeekaalu ya Mukama, era n’alonda bakabona n’Abaleevi Dawudi be yali awadde obuvunaanyizibwa obw’okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa, nga bajaguza era nga bayimba, nga Dawudi bwe yalagira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yekoyaada omulimu gw'okulabiriranga Yeekaalu ya Mukama, n'agukwasa bakabona n'Abaleevi, Dawudi be yateekawo mu nnyumba ya Mukama okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa ebya Mukama, nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa, nga bakola basanyuka era nga bayimba, nga Dawudi bwe yalagira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yehoyaada omulimu ogukolebwa mu Ssinzizo n'agukwasa bakabona n'Abaleevi, Dawudi be yateekawo mu Ssinzizo okuwangayo eri Mukama ebiweebwayo ebyokebwa, nga bwe kyawandiikibwa mu Mateeka ga Musa, ekyo bakikolenga nga basanyuka, era nga bayimba, nga Dawudi bwe yalagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yekoyaada n'assaawo obwami obw'oku nnyumba ya Mukama wansi w'omukono gwa bakabona Abaleevi, Dawudi be yateekateeka mu nnyumba ya Mukama okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa ebya Mukama, nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa, nga basanyuka era nga bayimba, nga Dawudi bwe yateekateeka.