2 Chronicles 23:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yassaawo n'abaggazi ku miryango gy'Ekiggwa ky'Omukama, waleme kuyingirayo ataali mulongoofu mu buli ngeri yonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ateeka n’abaggazi ku wankaaki za yeekaalu ya Mukama, waleme okubaawo omuntu yenna atali mulongoofu ayingira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yekoyaada era n'ateekawo abaggazi ku miryango gy'ennyumba ya Mukama, walemenga kuyingiramu omuntu atali mulongoofu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yehoyaada era n'ateekawo abaggazi ku miryango gy'Essinzizo, liremenga kuyingirwamu atali mulongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'assaawo abaggazi ku nzigi z'ennyumba ya Mukama, walemenga okuyingira omuntu yenna atali mulongoofu olw'ekigambo kyonna.