2 Chronicles 23:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Beetooloola Yuda yenna ne bakuŋŋaanya Abaleevi n'abakulu b'ennyumba za Yisirayeli eza bajjajjaabwe nga babaggya mu bibuga byonna ebya Yuda. Bano ne bajja e Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bagenda mu Yuda yonna ne bakuŋŋaanya Abaleevi n’abakulembeze b’ennyumba za bajjajja ba Isirayiri okuva mu bibuga byonna ebya Yuda ne bajja e Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne bagenda mu Yuda yonna ne bakuŋŋaanya Abaleevi okuva mu bibuga byonna ebya Yuda, n'abakulu be bika bya Isiraeri, ne bajja nabo e Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bayitaayita mu bibuga byonna eby'e Buyudaaya, ne baggyayo Abaleevi n'abakulu mu Bika eby'Abayisirayeli, ne bajja nabo e Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne batambulatambula mu Yuda ne bakuŋŋaanya Abaleevi okuva mu bibuga byonna ebya Yuda, n'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe eza Isiraeri, ne bajja e Yerusaalemi.