2 Chronicles 23:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bonna mu ggwanga ne basanyuka; ekibuga ne kitebenkera, kubanga Ataliya yali amaze okuttibwa n'ekitala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bonna ab’ensi ne bajaguza, n’ekibuga ne kitereera, kubanga Asaliya yali attiddwa n’ekitala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu bonna ab'omu nsi ne basanyuka, ekibuga ne kitereera, nga Asaliya amaze okuttibwa ne n'ekitala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bannansi bonna ne basanyuka, n'ekibuga ne kitereera, nga Ataliya amaze okuttibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abantu bonna ab'omu nsi ne basanyuka, ekibuga ne kitereera: ne batta Asaliya n'ekitala.