2 Chronicles 23:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibiina kyonna ne kikuba endagaano ne kabaka ku Kiggwa kya Katonda. Yoyada n'abagamba nti: “Wuuno mutabani wa kabaka, ajja kufuga ng'Omukama bwe yayogera ku bazzukulu ba Dawudi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekibiina kyonna ne bakola endagaano ne kabaka mu yeekaalu ya Katonda. Awo Yekoyaada n’abagamba nti, “Mutabani wa kabaka y’alifuga, nga Mukama bwe yasuubiza bazzukulu ba Dawudi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekibiina kyonna ne balagaana endagaano ne kabaka mu nnyumba ya Katonda. Awo Yekoyaada n'abagamba nti, “mutabani wa kabaka, yaba afuuka kabaka, nga Mukama bwe yasuubiza bazzukulu ba Dawudi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bonna ne bakuŋŋaanira mu Ssinzizo ne bakola endagaano n'omulangira ow'okulya obwakabaka. Yehoyaada n'abagamba nti: “Omulangira wuuno. Ye aba afuuka kabaka, nga Mukama bwe yasuubiza bazzukulu ba Dawudi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekibiina kyonna ne balagaana endagaano ne kabaka mu nnyumba ya Katonda. Awo n'abagamba nti Laba, mutabani wa kabaka anaafuga, nga Mukama bwe yayogera ebya batabani ba Dawudi.