2 Chronicles 23:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino kye muteekwa okukola: Ekyokusatu kyammwe mmwe bakabona n'Abaleevi abakuuma ku Sabbaato muli ba kukuuma mulyango,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era bwe muti bwe munaakola: kimu kya kusatu ku mmwe bakabona n’Abaleevi abanaaberanga ku luwalo ku ssabbiiti munaakuumanga wankaaki,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kino kye munaakola: kimu kya kusatu ku mmwe bakabona n'Abaleevi, abanaabeeranga ku luwalo ku Ssabbiiti, munaakumanga emiryango gya Yeekaalu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kino kye munaakola: mu mmwe bakabona n'Abaleevi bwe banajja ku mpalo zaabwe ku Sabbaato, ekimu ekyokusatu bakuume emiryango gy'Essinzizo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekigambo kino kye muba mukola: ekitundu kyammwe eky'okusatu abayingira ku ssabbiiti, ku bakabona ne ku Baleevi, banaabanga baggazi ba nzigi;