2 Chronicles 23:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ekyokusatu ekirala ku lubiri lwa kabaka, ate ekyokusatu ekisembayo kya kubeera ku Mulyango gw'Omusingi. Abantu abalala bonna ba kusigala mu mpya z'Ekiggwa ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ate kimu kya kusatu ekirala munaakuumanga olubiri lwa kabaka, n’ekimu kya kusatu ekirala munaakuumanga Omulyango ogw’Omusingi, n’abantu abalala bonna banaabeeranga mu luggya olwa yeekaalu ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ate kimu kya kusatu ekirala munaakuumanga ennyumba ya kabaka, n'ekimu eky'okusatu ekirala munaakuumanga omulyango ogw'omusingi. Abantu bonna banaabeeranga mu luggya lwa Yeekaalu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'ekimu ekyokusatu bakuume olubiri, n'ekimu ekyokusatu babeere ku mulyango oguyitibwa ogw'omusingi. N'abantu bonna babeere mu mpya z'Essinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ekitundu eky'okusatu banaabanga ku nnyumba ya kabaka; n'ekitundu eky'okusatu banaabanga ku mulyango ogw'omusingi: n'abantu bonna banaabanga mu mpya ez'ennyumba ya Mukama.